Isaiah 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye kiriba ekittuluze okubasiikiriza ebbugumu emisana, era obuddukiro n'obwewogomo okubawonya kibuyaga n'enkuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, era kiriba kifo mwekwekebwa okuwona kibuyaga n'enkuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, ne kikifuula ekifo ekyekusifu, omwekwekebwa okuwona enkuba ne kibuyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n'okuba ekiddukiro era omwekwekebwa.