Isaiah 40:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wuuno ajja n'amaanyi; omukono gwe gwe gumufugira; wuuno, empeera ye ali nayo; n'ebirabo bye bimukulembedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo. Laba empeera ye eri mu mukono gwe, buli muntu afune nga bw’akoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira, laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Mukama Afugabyonna wuuno ajja n'amaanyi, n'obuyinza bw'afugisa. Wuuno ali n'ebirabo, era n'empeera by'aligaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira: laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.