Isaiah 40:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alunda eggana lye ng'omusumba; obuliga abukuŋŋaanyiza mu mikono gye, n'abuwambaatira ku kifuba kye; eziyonsa azikulembeza kisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliisa ekisibo kye ng’omusumba, akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe n’abasitula mu kifuba kye, n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliisa endiga ze ng'omusumba bw'aliisa. Ento azikuŋŋaanya, n'azireetera mu mikono gye, n'aziwambaatira mu kifuba kye. N'enzadde eziyonsa, azirunda na bwegendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.