Isaiah 40:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yali ageze amazzi mu kibatu ky'omukono gwe, oba n'oluta lw'omukono gwe n'apima eggulu? Ani yali abibidde enfuufu y'oku nsi mu kibbo, obuzito bw'ensozi n'abupima mu minzaani, n'obusozi mu kigero?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye, n’apima eggulu n’oluta, n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo, oba n’apima ensozi ku minzaani, n’obusozi ku kipima?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yali apimye obungi bw'embatu z'ayinza okusena mu nnyanja, oba eyapima eggulu n'oluta? Ani yali atadde enfuufu y'oku nsi ku minzaani epimibwe, oba ensozi n'obusozi bipimibwe mu minzaani?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima?