Isaiah 40:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani gwe yali yeebuuzizzaako okumutangaaza, era ani eyamuyigiriza ekkubo ettuufu? Ani yamugunjula mu kumanya, era ani yamulaga ekkubo ly'okutegeera?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu? Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga, n’okumanya n’okutegeera?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ery'amazima, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yali yeebuuzizza ku ani, gw'asaba amuwe amagezi? Ani yali amuyigirizza, n'amulaga bw'aba asala ensonga? Ani yali amunnyonnyodde amanye era ategeere ebintu nga bwe bikolebwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza, n'amutegeeza mu kkubo ery'omusango, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera?