Isaiah 40:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, amawanga gali ng'ettondo obutondo mu kalobo; era gabalibwa ng'ekkerenda obukerenda ery'enfuufu mu minzaani; ebizinga abitwala ng'akafuufu obufuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era ng’enfuufu ekutte ku minzaani, apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'efuufu eri ku minzaani, laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Mukama amawanga gali ng'ettondo mu nsuwa y'amazzi; gali ng'olufufugge oluli ku minzaani. Laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'effufugge eriri mu minzaani: laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.