Isaiah 40:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba ekifaananyi omuweesi akisaanuusa; omufukusi wa zaabu n'akisiiga zaabu, omufukusi wa ffeeza n'akiweeseza emikuufu egya ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu, n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifaananyi ekyole omukozi akiyiiya; n'oyo aweesa akibikkako zaabu, era akiweeseza emikuufu gya ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza.