Isaiah 40:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwogere na kisa eri Yeruzaalemu, mulangirire gy'ali nti obudde obw'okuweereza buwedde n'ekibi kye kisonyiyiddwa; mu mukono gw'Omukama afunyeemu ekibonerezo kya mirundi ebiri olw'ebibi bye byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti, entalo ze ziweddewo, n’obutali butuukirivu bwe busasuliddwa. Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw’ebibi bye byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwogere eby'okusaasira Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze ziweddewo, n'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwogere ebizzaamu ab'omu Yerusaalemu amaanyi. Mubagambe nti okubonaabona kwabwe kaakano kuwedde, ebibi byabwe bisonyiyiddwa. Nze Mukama mbawadde ekibonerezo ekimala, nga mbalanga ebibi byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwogere eby'okusanyusa Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze zimalirizibbwa, ng'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; ng'aweereddwa mu mukono gwa Mukama emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna.