Isaiah 40:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awaŋŋamye ku nkulungo y'ensi, abantu abagirimu bali ng'amayanzi. Abamba eggulu nga minvuuli, n'alireega ng'eweema ey'okusulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gy’ali abantu bali ng’amayanzi. Atimba eggulu ng’olutimbe era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ye wuuyo atuula waggulu w'ensi enneekulungirivu. Abantu abagiriko basirikitu: batono bali nga buseenene. Atimba eggulu ng'olutimbe, era alibamba ng'eweema ey'okubeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu:
Recommended Reading