Isaiah 40:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baba baakasimbibwa, baba baakasigibwa, nga n'emirandira teginnasimba mu ttaka, n'abafuuwa ne bawotoka; kibuyaga n'abakuŋŋunsa ng'essubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa, biba byakasigibwa, biba byakaleeta emirandira, nga abifuuwa nga biwotoka, ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, tebasimbibwanga; weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mirandira mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baba ng'obumera obwakasimbibwa, obutannasimba mirandira wala wansi mu ttaka. Mukama olusindika embuyaga, ebufuuwako ne buwotoka. Bwe wajja kibuyaga ow'amaanyi, ng'abwerawo ng'ebisusunku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, tebasimbibwanga weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mmizi mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku.