Isaiah 40:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulalamye amaaso gammwe waggulu mulabe: Bino ani yabitonda? Oyo ayitayo nnamunkukumbo w'emmunyeenye kinneemu, n'aziwa erinnya buli emu. Olw'okubeera obuyinza bwe obunene n'amaanyi ge ag'ekitalo, tewali n'emu ebulawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. Ani eyatonda ebyo byonna? Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu, byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo. Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso, tewali na kimu kibulako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe; ani eyatonda ebyo byonna? afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabyo bwe guli; byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe. Ani yatonda ebyo ebiriyo? Ye oyo aduumira biveeyo ng'eggye, byonna n'abituuma amannya. Olw'obukulu bw'amaanyi ge, n'olw'obuyinza bwe obungi, tewali na kimu ku byo kibulako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw'ali, afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabwe bwe guli: byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.