Isaiah 40:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe Yakobo, oyinza otya okwogera, ggwe Yisirayeli, oyinza otya okugamba nti: “Ekkubo lyange likisiddwa Omukama, ensonga zange Katonda wange tazifaako”?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, “ Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu, era tafaayo nga tuggyibwako eddembe lyaffe ery’obwebange”?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bazzukulu ba Yakobo, ŋŋamba mmwe Abayisirayeli, muyinza mutya okwemulugunya nti Mukama tabalumirwa, era nti ne bwe munyigirizibwa Katonda wammwe tafaayo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange?