Isaiah 40:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tomanyi? Towulirangako? Omukama ye Katonda ataggwaawo, Omutonzi eyatonda ensalo z'ensi. Talikoowa yadde okuyongobera, entegeera ye teyeekebejjeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi w’enkomerero y’ensi. Tazirika so takoowa era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tonnamanya? Tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temukimanyi? Era temukiwulirangako? Mukama ye Katonda ow'olubeerera. Ensi yonna gy'efayenkana, ye yagitonda. Taggwaamu maanyi, takoowa, amagezi ge tegategeerekeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonnamanya? tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka.