Isaiah 40:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye abo abasuubira mu Mukama balifuna buggya amaanyi, baliseyeeyeza ku biwaawaatiro ng'empungu; balidduka, naye tebagenda kukoowa; balitambula, naye tebagenda kuyenjebuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abo abeesiga Mukama amaanyi agaabwe, galidda buggya. Balibuuka mu bbanga n'ebiwaawaatiro ng'empungu. Balidduka embiro, ne batakoowa. Balitambula, ne batayenjebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.