Isaiah 40:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ekitiibwa ky'Omukama kiryeyoleka, n'abantu bonna wamu balikiraba, kubanga kamwa ka Mukama ke koogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ekitiibwa kya Mukama kiriragibwa, era abantu bonna balikiraba, kubanga Mukama yennyini ye ayogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.