Isaiah 40:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddoboozi ligamba nti: “Leekaana.” Ko nze: “Ndeekaane ki?” “Buli muntu yenna muddo, n'ekitiibwa kye kiri ng'ekimuli eky'ettale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti, “Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.” Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti, “Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti, “N'ayogerera ki waggulu?” Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋaanga ekimuli eky'omu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ddoboozi ne ligamba nti: “Langirira!” Nze ne mbuuza nti: “Kiki kye mba nnangirira?” Ne liddamu nti: “Langirira nti abantu bonna bali nga muddo, n'okunyirira kwabwe kwonna kuli nga kimuli kya mu ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti Naayogerera ki waggulu? Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋanga ekimuli eky'omu nnimiro: