Isaiah 40:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuddo gukala, ekimuli kiwotoka, kubanga omukka gw'Omukama gukifuuwako; mazima ddala abantu muddo buddo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako. Mazima abantu muddo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako; mazima abantu muddo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuddo gukala, n'ekimuli kiyongobera Mukama bw'asindika embuyaga n'ebifuuwako. Ddala abantu bali nga muddo: nabo tebawangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako: mazima abantu muddo: