Isaiah 40:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Linnya ku lusozi oluwanvu, ggwe aleetera Siyoni amawulire agasanyusa; kangula eddoboozi lyo oleekaane, ggwe aleetera Yeruzaalemu amawulire agasanyusa; leekaanira waggulu, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti: “Katonda wammwe wuuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, werinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya. Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, “ Katonda wammwe!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe abuulira Siyooni amawulire amalungi, linnya waggulu ku lusozi oluwanvu. Ggwe abuulira Yerusaalemu amawulire amalungi, yimusa eddoboozi, oyogeze maanyi. Liyimuse, totya. Gamba ebibuga bya Buyudaaya, nti: “Katonda wammwe wuuno!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, Katonda wammwe!