Isaiah 41:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
leka nno kutya, kubanga nze ndi naawe; totengera, kubanga nze Katonda wo. Ndikugumya, ndikuyamba, nzija kukuwanirira n'omukono gwange ogwa ddyo omuwanguzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo, nnaakuwanga amaanyi; weewaawo, nnaakuyambanga; weewaawo, nnaakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Totya, kubanga Nze, ndi wamu naawe. Teweeraliikirira, kubanga Nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi, era nnaakuyambanga. Ddala nnaakuwaniriranga n'omukono gwange ogwa ddyo nga nkozesa obwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.