Isaiah 41:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti laba, bonna abakusunguwalira, baliswala ne basonyiwala; abakwesimbamu baliba ng'omutali kantu, balisaanawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, abo bonna abakukambuwalidde balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku. Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa ne baggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa; abo abawakana naawe baliba nga si kintu era balibula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale abo bonna abakusunguwalidde, balikwatibwa ensonyi era baliswazibwa. N'abo abakulwanyisa balimalibwawo ne bazikirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa: abo abawakana naawe baliba nga si kintu, era balibula.