Isaiah 41:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olinoonya abo abakwesimbamu, tolibazuula; abo abakulwanyisa baliba ng'omutali kantu, omutali nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olibanoonya abo abaakukijjanyanga naye n’otobalaba. Abo abaakulwanyisanga baliggwaamu ensa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza; abo abaakuwanyisanga baliggwaamu ensa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olibanoonya, naye tolibazuula. Abo abakwesimbamu ne beefuula abalabe bo balisaanyizibwawo, ne baba ng'abatabangawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza: abo abalwana naawe baliba nga si kintu era ng'ekirerya.