Isaiah 41:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nze Mukama Katonda wo, akukwata ku mukono gwo ogwa ddyo, ne nkugamba nti: ‘Leka kutya, nzija kukuyamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nze Mukama Katonda wo akukwata ku mukono ogwa ddyo, nze nkugamba nti, Totya nze nzija kukuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze Mukama Katonda wo nnaakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti, Totya; nze nnaakuyambanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Nze Mukama, Katonda wo, Nze nkuwa amaanyi, era nkugamba nti: ‘Totya, Nze nnaakuyambanga.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze Mukama Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga.