Isaiah 41:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leka kutya, ggwe Yakobo akasiriŋŋanyi, ggwe Yisirayeli olubatu obubatu. Nzija kubayamba,” Omukama bw'agamba, Omununuzi wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi totya, ggwe Isirayiri, kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo, nammwe abasajja ba Isiraeri; nze nnaakuyambanga, bw'ayogera Mukama, era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Omununuzi wo era Omutuukirivu wa Yisirayeli agamba nti: “Totya, Yisirayeli, ggwe omutono ng'olusiriŋŋanyi. Nze nja kukuyambanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo, nammwe abasajja ba Isiraeri; nze naakuyambanga, bw'ayogera Mukama, era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo.