Isaiah 41:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti laba, nkufudde enso esa, empya ate ey'obwogi ku njuyi zombi, okuli n'amannyo. Olisa ensozi n'ozimerengula, n'obusozi olibufuula ng'essubi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo, ekyogi eky’amannyo amangi. Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala, obusozi ne mubufuula ebisusunku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo; ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala, n'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula, era ekikyali ekiggya, ekyogi, era ekirina amannyo. Oliwuula ensozi n'ozaasaayasa, n'obusozi n'obufuula enfuufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo: ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala, n'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku.