Isaiah 41:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abanaku n'abawamma banoonya amazzi, naye tewali; ennimi zibakaze olw'ennyonta. Nze, Omukama, nzija kubaanukula; nze, Katonda wa Yisirayeli, siribaabulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi ne baganoonya naye ne gababula, ate nga ennimi zaabwe zikaze, nze Mukama ndibawulira, nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bange abanaku abatalina kantu, bwe balinoonya amazzi ne gababula, emimiro ne gibakala olw'ennyonta, Nze Mukama ndiwulira kye basaba. Nze Katonda wa Yisirayeli siribalekerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka.