Isaiah 41:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndifumbukula emigga ku busozi obwereere, n'enzizi mu biwonvu wakati; eddungu ndirifuula ebidiba by'amazzi, n'ensi enkalu ne ngifuula ensulo z'amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu, era n’ensulo wakati mu biwonvu. Olukoola ndirufuula ennyanja, n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndizibikula emigga ku busozi obutaliko kantu, n'ensulo wakati mu biwonvu; ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizibukula emigga okuva mu bifo ebigulumivu, era nditeekawo enzizi mu biwonvu. Ndifuula eddungu ekiyanja ky'amazzi, n'ettaka ekkalu ndirifuula ensulo ezikulukuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndizibikula emigga ku nsozi ez'obweru n'ensulo wakati mu biwonvu: ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi.