Isaiah 41:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yasiikuula oyo ow'ebuvanjuba, obuwanguzi gwe bugoberera buli w'assa ekigere? Oyo gw'awa amawanga, alinnyirira bakabaka mu maaso ge. Abafuula nfuufu n'ekitala kye, n'omusaale gwe abafuula ssubi empewo ly'efuuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba, eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu? Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga, n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye, obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro ebitwalibwa empewo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ayimusizza omuntu ava ebuvanjuba, gw'ayita mu butuukirivu okujja ku kigere kye? agaba amawanga mu maaso ge, era amufuza bakabaka; abawa ekitala kye ng'enfuufu, ng'ebisasiro ebikuŋŋunsibwa eri omutego gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ani yayita omuntu oyo okumuggya ebuvanjuba n'agenda ng'awangula buli w'atuuka wonna? Amugabula amawanga agawangule, afufuggaze bakabaka. Abasaanyaawo n'ekitala, aleka abafudde bangi ng'enfuufu. Obusaale bwe bubasaasaanya, ne baba ng'ebisusunku ebikuŋŋunsibwa embuyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ayimusizza omuntu ava ebuvanjuba, gw'ayita mu butuukirivu okujja ku kigere kye? agaba amawanga mu maaso ge, era amufuza bakabaka; abawa ekitala kye ng'enfuufu, ng'ebisasiro ebikuŋŋunsibwa eri omutego gwe.