Isaiah 41:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu balabe bamanye, beetegereze bategeere nti mukono gwa Mukama gwe gukoze kino, Omutuukirivu wa Yisirayeli y'akitonze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balyoke balabe bamanye, balowooze era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo abantu baliraba ne bamanya era balirowoolereza ne bategeerera ddala nga Nze Mukama, Nze nkoze kino, era nga Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli, Nze nkitaddewo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze.