Isaiah 41:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muleete ensonga zammwe,” Omukama bw'agamba, “muleete empoza yammwe.” Kabaka wa Yakobo bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti, “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere. Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muleete ensonga yammwe, bw'ayogera Mukama; mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Kabaka wa Yakobo, agamba nti: “Mmwe balubaale b'amawanga mwanjule ensonga zammwe. Muleete ezisingira ddala okuba ez'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muleete ensonga yammwe, bw'ayogera Mukama; mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo.