Isaiah 41:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mubireete bitubuulire byonna ebinaddirira. Mutubuulire ebyakulembera tubyetegereze tumanye ebiribivaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Baleete bakatonda bwabwe batubuulire ebigenda okubaawo. Batubuulire n’ebyaliwo emabega, tusobole okubimanya, n’okubirowoozaako n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazireete, batubuulire ebigenda okubaawo; mubuulire ebyasooka okubaawo bwe biri, tubirowooze tutegeere enkomerero yaabyo ey'oluvannyuma; oba mutulage ebigenda okujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujje mutubuulire ebiribaawo, tumanye we biribeererawo. Era mwogere ebyabaawo, munnyonnyole amakulu gaabyo, tubirowoozeeko era tumanye ekinaabivaamu. Oba mu tubuulire ebiri eyo gye bujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bazireete, batubuulire ebigenda okubaawo: mubuulire ebyasooka okubaawo bwe biri, tubirowooze tutegeere enkomerero yaabyo ey'oluvannyuma; oba mutulage ebigenda okujja.