Isaiah 41:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutubuulire ebigenda okubaawo gye bujja, lwe tunaategeera nti muli bakatonda. Mubeeko ekirungi oba ekibi kye mukola, tutye, tujjule ensisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutubuulire ebigenda okubaawo tulyoke tumanye nga muli bakatonda. Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubuulire ebigambo ebijja okubaawo oluvannyuma, tulyoke tutegeere nga muli bakatonda; weewaawo, mukole obulungi oba mukole obubi tukeŋŋentererwe tukirabire wamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwanjule ebiribaawo oluvannyuma, tulyoke tukakase nti ddala muli balubaale. Mubeeko ekirungi kye mukola oba akabi ke muleeta, mutujjuze okutya n'okweraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubuulire ebigambo ebijja okubaawo oluvannyuma, tulyoke tutegeere nga muli bakatonda: weewaawo, mukole obulungi oba mukole obubi tukeŋŋentererwe tukirabire wamu.