Isaiah 41:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Emambuka ntaakuddeyo omu, ajja; omu okuva enjuba gy'eva, akoowoola erinnya lyange. Asambirira abaami ng'obudongo, ng'omubumbi bw'asamba ebbumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange, abeera mu buvanjuba. Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka, abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyimusizza omuntu ava obukiikakkono era atuuse; okuva ebuvanjuba omuntu ayita erinnya lyange; Alirinnyirira abafuzi ng'asamba ettaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nalonda omusajja ava ebukiikakkono, era wuuyo atuuse. Ava ebuvanjuba, ng'akoowoola erinnya lyange. Alirinnyirira abafuzi ng'ettaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyimusizza omuntu ava obukiika obwa kkono, era atuuse; okuva ebuvanjuba omuntu ayita erinnya lyange: era alijja ku bafuga nga ku ttaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba.