Isaiah 41:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yalangirira kino okuva mu masooka, tumumanye, obanga obudde tebunnatuuka tulyoke tugambe nti: ‘Mutuufu’? Tewali yakirangirira, tewali yakiranga, wadde eyawulira ebigambo byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye, eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’ Tewali n’omu yakyogerako, tewali n’omu yakimanya era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyakibuulira okuva ku lubereberye tulyoke tumanye? era mu biro eby'edda tulyoke twogere nti, Mutuufu? Tewali n'omu yakyogerako, tewali n'omu yakimanya, weewaawo, tewali awulira ebigambo byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani ku mmwe eyalanga edda nti kino kirituukirira, tulyoke tumanye nti yali mutuufu? Ku mmwe tewali yakyogerako. Tewali muntu yawulira kigambo na kimu kye mwayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani eyakibuulira okuva ku lubereberye tulyoke tumanye? era mu biro eby'edda tulyoke twogere nti Mutuukirivu? weewaawo, tewali abuulira, weewaawo, tewali alaga, weewaawo, tewali awulira ebigambo byammwe.