Isaiah 41:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, bonna bugwenyufu busa; bye bakola temuli kantu; ebifaananyi byabwe ebya balubaale mpewo buwewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, bonna temuli nsa! Bye bakola byonna tebigasa. Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, bo bonna temuli nsa! Bye bakola byonna tebigasa. ebifaananyi byabwe ebyole mpewo na kwetabula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balubaale bonna abo, tebalina mugaso. Tebaliiko kye basobola kukola. Ebifaananyi byabwe ebiweese, mpewo era temuli makulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, bo bonna emirimu gyabwe birerya so si kintu: ebifaananyi byabwe ebyole mpewo na kwetabula.