Isaiah 41:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani akoze kino, ani akituukirizza, ng'ayita amazadde okuviira ddala mu kusooka? Ye nze, Omukama, omubereberye era n'asembayo; ye Nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow’olubereberye era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyakireeta eyakikola, ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow'olubereberye era ow'enkomerero, nze wuuyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani akkiriza ebyo byonna bibeewo, eyabitegeka okuva olubereberye? Ye Nze Mukama ow'olubereberye, era ye Nze enkomerero ya byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani eyakireeta eyakikola, ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow'olubereberye era ow'enkonerero, nze wuuyo.