Isaiah 41:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweesi agumya omufukusi wa zaabu, n'akubya ennyondo agumya akolera ku jjinja ly'omu ssasa, ng'agamba ayunga ebyuma nti: ‘Kirungi’, olwo ekifaananyi nga bakinywezesa emisumaali, kireme kunyeenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo, n’oyo ayooyoota n’akayondo n’agumya oyo akuba ku luyijja ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,” era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omubazzi n'agumya omwoyo omuweesi wa zaabu, n'oyo ayoyoota n'akayondo n'agumya oyo akuba ku luyijja, ng'ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Kirungi;” n'akikomerera n'enninga kireme okusagaasagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubazzi w'ekifaananyi kye basinza agumya omuweesi wa zaabu. Oyo akuba ennyondo okuttaanya, n'agumya akomereramu emisumaali nti: ‘Kye tukoze kye kyo, kirungi!’ Ne bakikomerera n'enninga kireme kusagaasagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omubazzi n'agumya omwoyo omuweesi wa zaabu, n'oyo asennyenta n'ennyondo n'agumya oyo akuba ku luyijja, ng'ayogera ku kyuma ekigatta nti Kirungi: n'akikomerera n'enninga kireme okusagaasagana.