Isaiah 41:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ggwe gwe naggya ku nkingi z'ensi, ne nkuyita okuva ku nkuzi yaayo, ne ŋŋamba nti: ‘Ggwe muweereza wange; nkwerobozezza, era sikusudde’,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala, ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’ nze nakulonda so sikusuulanga:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne nkugamba nti, “ Ggwe muddu wange, nnakulonda so sikusuulanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nakuggya ku nkomerero y'ensi, ne nkuyita okuva ku nsonda zaayo, ne nkugamba nti: ‘Ggwe muweereza wange!’ Nakweroboza era sikuboolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne nkugamba nti Ggwe muddu wange, nakulonda so sikusuulanga;