Isaiah 42:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wuuno omuweereza wange gwe mpanirira, omulonde wange omutima gwange gwe gwesiimiramu; mmutaddeko Mwoyo wange, alitwalira amawanga obwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba omuweereza wange gwe mpanirira, omulonde wange gwe nsanyukira ennyo. Ndimuwa Omwoyo wange era alireeta obwenkanya eri amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira; ntadde omwoyo gwange ku ye; alireeta obwenkanya eri amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Omuweereza wange wuuno gwe mpanirira. Omulondemu wange, gwe neeyagaliramu. Namujjuzaamu Mwoyo wange, alyoke aleete obwenkanya mu mawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira: ntadde omwoyo gwange ku ye; alyolesa omusango eri ab'amawanga.