Isaiah 42:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alivaayo ng'omuzira nnamige, ng'omutabaazi asiikuula obusungu bwe; aleekaana n'akuba enduulu, aliwangula abalabe be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi, era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta, n’okuleekaana ng’alangirira olutalo. Era aliwangula abalabe be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; ng'omutabazi alijja yeeswanta, n'okuleekaana ng'alangirira olutalo. Era aliwangula abalabe be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama avaayo okulwana ng'omuzira ow'amaanyi. Alaga obukambwe ng'omuserikale. Akuba enduulu ey'olutalo, erimu n'okuleekaana. Alaga obuyinza bwe obulwanyisa omulabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; alibakwasa obuggya ng'omutabaazi: alireekaana, weewaawo, alyogerera waggulu; alikola abalabe be eby'amaanyi.