Isaiah 42:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okumala akabanga mbadde nsiriikiridde, nga sinyega, neefuze; naye kati ng'omukazi ng'azaala; mpoloma, nsinda ne mpejjawejja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba, nga nsirise neekuumye. Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala, nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebbanga ggwanvu nga nsirise nga siriiko kye ŋŋamba, nnabeerera awo ne nzibiikiriza; kaakano n'ayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala; nnaawejjawejja nga nzisa ebikkowe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mmaze ebbanga liweze nga ŋŋumiikirizza, nsirise. Naye kaakano nja kuleekaana ng'omukazi alumwa okuzaala. Nja kuwejjawejja, nsinde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naludde okusirika; nabeerera awo ne nzibiikiriza: kaakano naayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala; naalaakiira ne mpejjerawejjera wamu.