Isaiah 42:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamuzibe ndibakulembera mu makubo ge batamanyi, ndibayisa mu bukubo bwe batamanyangako. Enzikiza ndigifuula kitangaala mu maaso gaabwe, ebifo eby'ebisirikko ndibiseeteeza. Bino ndibikola era siribaabulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde. Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa. Ebyo by’ebintu bye ndikola, sirireka bantu bange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikulembera abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa; ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndikulembera bamuzibe, ne mbayisa mu makubo ge batamanyi. Ekizikiza ndikifuula ekitangaala mu maaso gaabwe, ne mbaseeteereza ebifo mwe bayita. Ebyo ndibibakolera, era siribaabulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndireeta abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa: ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka.