Isaiah 42:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abo abeesiga ebifaananyi bya balubaale ebyole, abayita ebifaananyi bya balubaale ebisaanuuse nti: ‘Mmwe balubaale baffe’, balizzibwayo emabega nga baswadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti, ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi, era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balikyusibwa okudda emabega, balikwatibwa ensonyi nnyingi, abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebisaanuuse nti, “Mmwe muli bakatonda baffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebikole nti: ‘Mmwe Katonda waffe’. Balitoowazibwa ne bazzibwa emabega, ne baswazibwa nnyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balikyusibwa okudda ennyuma, balikwasibwa ensonyi nnyingi, abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebisaanuuse nti Mmwe muli bakatonda baffe.