Isaiah 42:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani muzibe ng'omuweereza wange, ani kiggala ng'omubaka gwe natuma? Ani muzibe ng'oyo eyanneewa, oba muzibe ng'omuweereza w'Omukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani muzibe okuggyako omuweereza wange, oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma? Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi, oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange oba omuggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma? ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange oba omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani muzibe okusinga omuweereza wange? Oba ani kiggala okusinga omubaka wange gwe ntuma? Ddala ani muzibe ng'oyo eyatabagana nange? Ani muzibe ng'omuweereza wange Nze Mukama?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange? oba muggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma? ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange era omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama?