Isaiah 42:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bano be bantu ababbibwa ne banyagibwa, bonna baggaliddwa mu binnya, bakwekeddwa mu makomera; bafuuse munyago, awatali na wa kubanunula; bafuuse lwayo, awatali n'agamba nti: “Bakomyeewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bano, bantu be, ababbibwa ne banyagibwa bonna ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera. Bafuuka munyago nga tewali n’omu abanunula, bafuuliddwa abanyage nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa bo bonna bateegebwa mu bunnya, era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera; bafuuka munyago nga tewali abanunula, bafuuliddwa abanyage so tewali ayogera nti, “Bateebwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu be bano babbibwa ne banyagibwa, bonna bategebwa mu bunnya, ne bakwekebwa mu makomera. Bayiggibwa ne wataba abawonya, banyagibwa ne wabula abakomyawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa bo bonna bateegebwa mu bunnya, era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera: ba kunyagibwa so tewali awonya; ba kukambuulibwa so tewali ayogera nti Zzaayo.