Isaiah 42:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yawaayo Yakobo eri omunyazi, ne Yisirayeli eri abamwaya? Teyali Mukama yennyini gwe twasobya? Kubanga baagaana okutambulira mu makubo ge, tebaawulira tteeka lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago ne Isirayiri eri abanyazi? Teyali Mukama gwe twayonoona? Ekyo yakikola kubanga tebaagoberera makubo ge. Tebaagondera mateeka ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyawaayo Yakobo omunyago ne Isiraeri eri abanyazi? Si Mukama? Oyo gwe twayonoona, so tebaaganya kutambulira mu makubo ge, so tebaagondera mateeka ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yawaayo bazzukulu ba Yakobo okunyagibwa? Ani yagabula Yisirayeli mu mikono gy'abanyazi? Yali Mukama yennyini, gwe twanyiiza nga tukola ebibi. Abantu baagaana okukola by'ayagala, ne bajeemera amateeka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani eyawaayo Yakobo okukambuulibwa ne Isiraeri eri abanyazi? si Mukama? oyo gwe twayonoona, so tebaaganya kutambulira mu makubo ge, so tebaagondera mateeka ge.