Isaiah 42:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talinafuwa, yadde okuterebuka, okutuusa lw'alibukaza obwenkanya ku nsi; ebizinga birindirira etteeka lye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi. N’ebizinga eby’ewala biririndirira amateeka ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Taliremererwa oba okuggwamu essuubi okutuusa lw'alisaawo obwenkanya mu nsi; n'ebizinga biririndirira amateeka ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Taliggwaamu ssuubi, wadde okuterebuka. Aliteekawo obwenkanya mu nsi, era ab'omu nsi ez'ewala, balindirira n'essanyu by'ayigiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Talizirika so talikeŋŋentererwa okutuusa lw'alisimba omusango mu nsi; n'ebizinga biririndirira amateeka ge.