Isaiah 42:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino Omukama Katonda ky'agamba, oyo eyatonda eggulu n'alibamba, eyayaliirirawo ensi na byonna ebigisibukamu, awa abantu omwoyo abo abagibeerako, n'obulamu abo abagitambulirako:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda, eyatonda eggulu n’alibamba. Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; awa omukka abantu baakwo era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Katonda Mukama, eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda ye yatonda eggulu n'alibamba. Ye yayanjuluza ensi n'ebigirimu byonna. Abantu abagibeeramu era abagitambuliramu, ye yabateekamu omukka n'omwoyo ogw'obulamu. Kaakano Mukama oyo, agamba omuweereza we nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Katonda, Mukama eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako: