Isaiah 42:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze Omukama nakuyita mu butuukirivu; nakukwata ku mukono ne nkukuuma, ne nkussaawo obeere endagaano eri abantu, ekitangaala eri amawanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze Mukama, nakuyita mu butuukirivu. Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma. Ndikufuula okuba endagaano eri abantu, era omusana eri bannamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, ndikukwata ku mukono era nnaakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama, nakuyita okuleetera abantu obwenkanya. Nakukwata ku mukono, era ne nkukuuma. Ndiyita mu ggwe, okukola endagaano n'abantu bonna, era ndiyita mu ggwe okuleetera amawanga ekitangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, era naakwatanga ku mukono gwo era naakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga;