Isaiah 42:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ozibule amaaso agazibye, oggye abasibe mu kkomera, oggye mu nkomyo abatudde mu nzikiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuzibula amaaso g’abazibe, okuta abasibe okuva mu makomera n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olizibula amaaso ga bamuzibe. Oliggya abasibe mu kkomera, n'owa eddembe abo abasibiddwa mu nzikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.