Isaiah 42:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyaliwo luli bye bizzeemu okubaawo, biggya bye nnangirira, nga tebinnabaawo mbibabuulirirawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ebyo bye nagamba nti biribaawo bituuse, kaakano mbabuulira ku bigenda okujja; mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ebyasooka okubaawo bituuse, n'ebiggya mbibuulira; nga tebinnaba kulabika mbibabuulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu bye nalanga edda, kaakano bituukiridde. Kati nja kubabuulira ebiggya, nga tebinnatandika kubaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ebyasooka okubaawo bituuse, n'ebiggya mbibuulira: nga tebinnaba kulabika mbibabuulira.